SSENTEBE w’akakiiko k’ebyokulonda, Ying. Dr. Badru Kiggundu asimbiddwa mu kaguli ka kkooti ey’oku ntikko mu maaso g’Abalamuzi mwenda abaakuliddwa Ssaabalamuzi wa Uganda Bart Katureebe, Bannamateeka ba Amama Mbabazi ne bamusoya kajogijogi w’ekibuuzo;
Mohammad Mbabazi (omu ku balooya ba Mbabazi): Buulira kkooti oba empapula okulangiririrwa ebivudde mu kulonda ku byalo eziyitibwa ‘DR Forms’, empapula okugattirwa obululu, ebiwandiiko ebikwata ku bivudde mu kulonda nga bwe byogerwako mu tteeka ly’okulonda Pulezidenti, bye biwandiiko kwe wasinziira okulangirira omuwanguzi e Namboole
Dr. Kiggundu: Nnasinziira ku kkopi ez’ebivudde mu kulonda ku buli disitulikiti ezaakubwa ebifaananyi ebyaweerezebwa ku kompyuta z’akakiiko k’Ebyokulonda e Namboole:
Looya: Ekitegeeza tewalina, ‘DR Forms’, empapula okwagattirwa obululu, n’ebiwandiiko ebikwata ku bivudde mu kulonda nga bwe byogerwako mu tteeka ly’okulonda?
Dr. Kiggundu: Nnalina kkopi ezikubiddwa ebifaananyi ku kompyuta, ssaalina DR forms ezo z’oyogerako kubanga obudde bwe nnalina obw’essaawa 48 okufulumizaamu ebivudde mu kalulu bwali butono nga tekisoboka kulinda DR forms zonna mu ggwanga.
Looya: Buulira kkooti engeri gye wafunamu foomu ezikubiddwa ebifaananyi.
Dr. Kiggundu: Okulonda nga kuwedde ku byalo, ebivudde mu kalulu n’ebikozeseddwa mu kulonda byakuhhaanyizibwa ku magombolola gye byaggyibwa ne bitwalibwa ku disitulikiti, olwo akulira ebyokulonda ku disitulikiti (Returning Officer) n’abisoma mu lujjudde nga baagenti n’abantu abaliwo bawulira era balaba ne bikakasibwa oba ddala bituufu.
Kiggundu ng'anywa ku tuzzi oluvannyuma lw'okumusoya ebibuuzo eby'okumukumu
Ng’okubirangirira mu lujjudde kuwedde, byassibwa mu bbaasa okuweerezebwa e Namboole. Wabula olw’obufunda bw’obudde, omukungu w’akakiiko k’ebyokulonda ayitibwa ‘Tally clerk’, yayingiza ebivudde mu kulonda mu kompyuta z’akakiiko k’Ebyokulonda ku disitulikiti oluvannyuma akulira ebyokulonda ku disitulikiti n’abikakasa nti bifuufu ne biryoka bituweerezebwa e Namboole tusobole okussa mu kompyuta zaffe n’okubirangira kubanga twalina okufulumya buli ebifuniddwaawo buli luvannyuma lw’ekiseera ekigere.
Looya: Baagenti b’abeesimbyewo baalina omukisa okulaba ku biyingiziddwa mu kompyuta okukakasa oba bituufu?
Dr. Kiggundu: Akulira ebyokulonda ku disitulikiti yalangiriranga mu lujjudde ebivudde mu kulonda nga baagenti b’abeesimbyewo weebali n’abantu abalala bonna.
Looya: Mu kuyingiza mu kompyuta ebyo ebiwedde okulangirirwa akulira ebyokulonda ku disitulikiti, baagenti b’abeesimbyewo baaweebwa omukisa okubirabako okukakasa obutuufu bwabyo nga tebinnaweerezebwa Namboole?
Dr. Kiggundu: Baagenti baakoma ku mutendera ogw’okulangirira ebigattiddwa mu disitulikiti.
Looya: Nnyonnyola kkooti oba eyo y’enkola entuufu, oba etteeka bwe liragira.
Dr. Kiggundu: Akakiiko k’Ebyokulonda kaalina kompyuta bbiri zokka ku buli disitulikiti, tetwalina busobozi bwa nsimbi zimala okussa kompyuta mu buli kifo okusobozesa buli agenti okulaba ebibeera biyingiziddwa ku kompyuta.
Looya: Clerk avunaanyizibwa ku kussa mu kompyuta ebivudde mu kulonda tasobola kuyingizaamu ye by’ayagala nga yeeyambisa omukisa ogwa agenti obutabaawo?
Dr. Kiggundu: Mu kusoma ebivudde mu kulonda, agenti asobola okwemugulunya singa ebibeera bisomeddwa takkaanya nabyo.
Kompyuta zaffe zirina obusobozi okugaana emiwendo egitakwatagana ne foomu ekubiddwa ekifaananyi.
Kiggundu ng'anyumyamu ne ssabawolereza wa Gavumenti Luhindi Fredrick
Looya: Etteeka ligamba ki ku buvunaanyizibwa bwa baagenti b’abeesimbyewo?
Dr. Kiggundu: Kantandikire ku kifo ekironderwamu, baagenti balina okubaawo ng’okulonda kutandika ne bakakasa nti ebikozesebwa mu kulonda byonna weebiri, bookisi ez’obululu ne zisumululwa nga weebali ne bakakasa nti temuli bululu.
Looya: Omanyi etteeka ly’okulonda Pulezidenti kye lyogera mu butundu 54 ne 56?. Buulira kkooti oba mu kulangirira ebivudde mu kulonda, wali omaze okufuna bbaasa omuli foomu n’ebiwandiiko byonna ebikwata ku bivudde mu kulonda okuva mu bakulira ebyokulonda ku disitulikiti zonna mu ggwanga?
Dr. Kiggundu: Njagala kkooti etegeere obugubi bwe tukolereramu ng’akakiiko k’ebyokulonda kubanga Konsitityusoni etuwa essaawa 48 zokka okulangirira ebivudde mu kulonda. Tetusobola kulinda mabaasa gonna okuva mu disitulikiti zonna.
Looya: Etteeka liragira ki?
Dr. Kiggundu: Bakama bange Abalamuzi, etteeka lye limu limpa obuyinza nga ssentebe w’akakiiko ak’ebyokulonda okukola kyonna ekisoboka ku lw’obulungi bw’okutegeka okulonda.
Looya: Obuuma obweyambisibwa mu kulonda obuyitibwaBiometric Voter Verification Kit(BVVK) bwakozesebwa mu balonzi bameka?
Dr. Kiggundu: Simanyi muwendo.
Looya: Oyagala kutegeeza kkooti nti tomanyi muwendo gw’abalonzi abaalonda nga beeymbisa BVVK?
Dr. Kiggundu: Sigumanyi Looya:
Abantu bameka abataakozesa buuma obwo?
Dr. Kiggundu: Omuwendo sigulina wano.
Looya: Ogambye nti oli musanyufu n’omulimu ogwakoleddwa BVVK ate ng’otegeezezza kkooti nti abantu tebaakozesezza buuma obwo era tomanyi na muwendo gw’abantu bameka abaabukozesezza.
Dr. Kiggundu: Njagala okutegeeza kkooti nti olw’obufunda bw’ensawo yaffe ng’eggwanga, bwe twali tugula tekinologiya ow’obuuma buno, tetwasasula buli kimu kye busobola okukola wabula twasasula ebintu bimu naddala ekyo eky’okulemesa abantu okulonda emirundi egisukka mu gumu era ekyo twakifuna.
Looya: (Alaga Kiggundu DR form ezaava ku Corner Primary School e Wakiso). Foomu zino ozimanyi?
Dr. Kiggundu: Ebyo ebiwandiiko sisobola kubikakasa kubanga simanyi gy’obiggye.
Ba puliida ba Mbabazi nga beegeyaamu wabweru wa kkooti
Looya: Okubikakasa nti bituufu kyetaagisa ki?
Dr. Kiggundu: Olina kubireeta ku ofiisi zaffe ez’akakiiko k’ebyokulonda tulyoke tubikakase nti bituufu n’oluvannyuma nja kusobola okubyogerako.
Looya: Kati bw’oba weegaanyi ebiwandiiko ebibyo, kwe wasinziira okulangirira omuwanguzi, tulage ebiwandiiko kwe wasinziira okulangirira awangudde okulonda?
Dr. Kiggundu: Twabayita mu ofiisi zaffe ne mubiraba.
Looya: Foomu zonna ezaakubwa ebifaananyi ne ziyingizibwa mu kompyuta kwe wasinziira okulangirira zo ziriwa?
Dr. Kiggundu: Teziriiwo kati mu kkooti kubanga biri ku kompyuta zaffe ez’enjawulo, bw’oba ozaagala nsobola okuzikufunira.
Looya: Era okyalumiriza nti okulonda wakuteekateeka ng’ogoberera amateeka?
Dr. Kiggundu: Kituufu era kino kye mbadde nkola ebbanga lyonna lye mmaze mu ofiisi y’akakiiko k’ebyokulonda okuva mu 2002.
Looya: Omuwendo gw’abalonzi mu Kampala ne Wakiso olowooza gwenkana wa?
Dr. Kiggundu: Ndowooza bali obukadde nga bubiri.
Looya: Ekitegeeza abantu obukadde bubiri tebaalina bikozesebwa mu kulonda ku lunaku lw’okulonda?
Dr. Kiggundu: Nneetondera eggwanga okuva ku ntobo y’omutima gwange era twayongezaayo obudde mwe baalina okumaliririza okulonda ate we kisaana abamu ne balonda n’enkeera.
Looya: Abalonzi bano era baakozesa BVVK?
Dr. Kiggundu: Ekyo kituufu nnyo era bwakola omulimu gwa ttendo nnyo. Looya: Akuuma kano buli muntu kaali kamukolerako bbanga lyenkana wa?
Kiggundu nga bamusoya ebibuuzo mu maao ga balamuzi
Dr. Kiggundu: (Asooka kusekamu) Ssebo gy’olaga mmanyiyo nnyo kubanga mulowooza akuuma buli muntu kaali kamukolerako eddakiika 2. Kino si kituufu n’akamu. Buli muntu kaali kamukolerako sikondi 30.
Looya: Mu sekondi zino 30 tubuulire kiki akuuma kye kaba kakola ng’omuntu atuuse?
Dr. Kiggundu: Omulonzi bwe yatuukanga mu kifo awalondebwa ng’afuna akapapula akamwogerako. Akapapula kano kaakubibwanga ekifaananyi ne kiteekebwa ku kuuma kano nga buli kimu ekikwogerako kakireeta era ng’omulonzi ateekako ekinkumu kye okusobola okukakasa nti ye gwe kennyini agenda okulonda si muntu mulala.
Looya Twinobusingye: Ssemateeka afuga Uganda naddala akatundu 2 kagamba nti tewali tteeka lyonna liri waggulu wa Ssemateeka afuga Uganda. Ani yakulagira okuleeta amateeka ge Ghana okuddukanya ebintu bya Uganda?
(Looya we Erison Karuhanga ayimirira n’amutaasa ekibuuzo ng’agamba nti ensonga z’okutaputa amateeka zirina kubuuzibwa ba ooya wabula ssi Kiggundu kubanga ye si mukugu mu byamateeka).
Looya Basalirwa (Naye wa Mbabazi): Tukakasa tutya akuuma kano [BVVK] nga tosobola na kutegeeza kkooti bantu bameka be kaakolako?
Dr. Kiggundu: Omulimu gw’akuuma kano tegwali gwa kubala bantu bameka abalonzi yadde nga kakisobola. Omulimu gwako ogwakatuleetesa gwali gwa kulwanyisa bantu kulonda mirundi gisukka mu gumu era kaakola bulungi ku nsonga eno.
Looya Basalirwa: Kalonda eyali mu ligesita enkadde gye mwakaddiya mwamuteeka wa?
Dr. Kiggundu: Guno si gwe mulundi ogusoose okudibya ligesita. Twasooka mu 2005 kubanga yali ewandiisiddwa ngalo.
Tugenze tuzza ligesita obuggya enfunda eziwera okusobola okuziyiza abantu okulonda emirundi emingi. KKOOTI YAKKIRIZZA AB’E MAKERERE Mu kusooka kkooti yakkirizza abasomesa b’Ebyamateeka mu Yunivasite e Makerere okwegatta mu musango gwa Mbabazi ogukwata ku by’okubba obululu.
Copyright © Bukedde